Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi asambazze ebigambibwa nti ab’enyumba ye bakweese olukalala okuli ba memba b’ekibiina kya NRM .
Mbabazi ne muwalawe Lina Mbabazi bazze babalumiriza okukweka olukalala luno nga kiwalirizza abakulira ekibiina kino okuddamu okuteekateeka olulala.
Mbabazi agamba ssemateeka w’ekibiina kya NRM awa obukiiko bw’ebyalo obuyinza okuwandiisa ba memeba abapya sso ssi ssabawandiisi w’ekibiina oba ssentebe.
Wabula Mbabazi agamba nti okulongoosa olukalala si kibi kubanga banji abegasse ku kibiina kino nga n’abamu baakyabulira.
Mbabazi era azzemu okukkatiriza nga ebyayisibwa ababaka ba palamenti e Kyankwanzi omukulembeze w’eggwanga yesimbewo awatali amuvuguya mu kibiina bw’eyali endowooza obulowooza kubanga ba memba b’ekibiina balina omulimu gumu gwokka gwakuyisa ebiteeso bya NRM mu palamenti.
Mbabazi okwogera bino abadde asisnkanyemu ekibinja ky’abakulembeze okuva mu bugwanjuba bw’eggwanga nga bakulembeddwamu Ellady Muyambi abamukwanze satifikeeti emusemba yesimbewo ku bwapulezidenti mu 2016.