Skip to content Skip to footer

Aba Sudani balumbye abe Mukono

Sudan fighting

Abatuuze mu gombolola ye  Goma naddala mu kibuga kye Seeta bali mu kutya olwabasudani  abayitirivu abeyiye mu kabuga nga n’abakulembeze baabwe twebamanyi kigenda mu maaso.

Ssentebbe wa LC eyokusatu e Goma Erisa Mukasa Nkoyoyo atutegezezza nti nabo nga abakulembeze babalaba bulabi awatali kunyonyolwa kwonna kuva eri gavumenti.

Abatuuze bemulugunya nga buli kintu mu kitundu bwekirinye nga ensimzi z’obupangisa olwabasudani bano abasasula obuwanana kale nga banansi boolekedde okudda mu kyalo.

Ensonga eno abakulembeze bagitegezaako minister wensonga zomunda mu gwanga General  Aronda Nyakayirima bweyali akomezaawo endaga muntu e Mukono wabula bagamba nakati tebananyonyolwa.

Leave a comment

0.0/5