
Omuntu omu afudde n’abalala 10 nebalumizibwa mu kavuyo wakati w’omubaka Emmanuel Dombo ne munne bwebavuganya Moses Musamba.
Omugenzi ategerekese nga Deo Yona ow’emyaka 34 nga mutuuze ku kyaalo Bingo e Butalejja
Afudde abadde muwagizi wa Dombo omubaka we Bunyole e Butalejja.
Bano bavuganya kulondako ani anakwata bendera ya NRM.
Ayogerera poliisi ye Bukedi Michael Odongo agambye nti obuvuyo buno bwabadde mu Kabuga ke Kachonga abawagizi ba Dombo gyebasangiddwa nga batimbulula e bipande bya Musamba engumi y’eramula
Poliisi ekyanonyereza ebisingawo ku musango guno.