
Abeesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga bakyagenda mu maaso n’okuzzaayo foomu okukakasibwa akakiiko akalondesa.
Mu kadde kano akulira ekibiina kya Peoples Development Party Dr Abed Bwanika y’agenda mu maaso n’okusunsulwa.
N’aba FDC nga bakulembeddwaamu akulira akakiiko akalondesa Dan Mugarura y’akulembeddemu aba FDC okutwala emikono.
Mugarura agambye nti basazeewo nti bakuwandiisa omuntu waabwe nga yetongodde oluvanyuma lw’omukago okulemererwa okukkannya ku kusimbawo omuntu omu.
Mugarura agambye nti ekigendererwa ky’omukago kwaali kusimbawo Muntu omu era bwebyagaanye nebabivaako.
Bbo ab’akakiiko akalondesa bagamba nti bali mu kwetegereza mikono gireeteddwa nga tebannayisaamu bagireese.