
Abavuganya gavumenti wansi w’omukago gwa The Democratic Alliance balonze eyali ssabaminisita Amama Mbabazi okukwata bendera y’omukago gwaabwe omwaka ogujja
Mbabazi awangudde Dr Kiiza Besigye gw’abadde naye mu lwokaano.
Abawagidde Mbabazi kuliko aba DP eya Norbert Mao, aba Uganda Federal Alliance abakulembeddwaamu Betty Kamya, Gilbert Bukenya, Jeema yekutuddemu nga Asuman Basalirwa wa Dr Besigye ate Mohammed Kibirige wa Mbabazi.
Aba UPC abakulembeddwaamu Olara Otunnu nabo babadde ba Mbabazi ate ng’abantu abalala abakulu okubadde Miria Matembe, Bishop Zac Niringiye, Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere ne Imam Kasozi
Abawagidde Dr. Besigye kubaddeko Aba CP abakulembeddwaamu John Ken Lukyamuzi n’aba FDC.
Alangiridde bino y’akulira DP Norbet Mao agambye nti bakooye abakulembeze abataleeta nkyukakyuka.
Yye Amama Mbabazi yeebazizza abo abamutaddemu obwesige n’asuubiza nti ssiwakubayiwa.
Wabula yye Dr Kiiza Besigye agamba nti akadde k’amaze mu mukago kamuwadde obudde okumanya abali mu mukago omuli ne Amama Mbabazi