Bya Gertrude Mutyaba
Ab’oluganda lw’omusajja eyawambibwa abagambibwa okubeera abakuuma ddembe, sabiiti ewedde bajalidde gavumenti eyingire mu nsonga zaabwe.
Abdul Hamidu Lugemwaowemyaka 40 nga mutuuze w’e Kyabakuza zone A mu gombolola ya Kimaanya-Kyabakuza mu Municipaali ye Masaka yawambibwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.
Okusinziira ku mukyala w’omuwambe Mariam Nazziwa, omwami we baamusanga, ava ku muzigiti ngadda waka.
Wabula omwogezi wa poliisi mu bendo-bendo lye Masaka, Lameck Kigozi akakasizza ngabakuuma ddembe webakwata Lugemwa, nga bamunonyerezaako ku misango gyatatukirizza.