Ab’ekitongole kya KCCA bagadde edduuka ly’emigaati erya Hotloaf wali ku Duster Street.
Edduuka lino liggaddwa lwakutunda migaati ne keeki enfu
Abasirikale ba KCCA bazinzeeko ekifo kino nebatandika okukungaanya byonna byebakola nga bwebasuula mu biveera
Wabula bbo abantu ababaddewo basabye abasirikale emigaati gino okugiwa abaana b’okunguudo kyokka nga bagaanye.
KCCA ebadde eggala ebifo ebirimu obujama n’ebintu ebitatuukagana na mutindo