Bya Ruth Anderah
Omuvubuka owemyaka 25 eyasibibwa, kooti ya Buganda Road olwokukwekwenya kwenya omubaka omukyala owa district ye Kabarole Sylvia Rwawogo alabiseeko ku kooti enkulu okujulira ngawakanya ekibonererzo ekyamuweebwa.
Brian Isiko yaweebwa ekibonerezo kya myaka 2, omulamuzi we ddaala erisooka ku kooti ya Buganda Road Gladys Kamasanyu bweyakiriza omusango ogwamusomerwa.
Wabula omuvubuka ono teyamatira Isiko nekibonererzo ekyamuweebwa, nti kyali kya bukambwe nnyo.
Ono baamuvunaana, nti mu July womwaka guno yakubanga amasimu nokusindika obubaka eri omubaka Rwabwogo, nti amwagala bitole.