Skip to content Skip to footer

Jjajja wa Nabagereka aziikiddwa

Nasiisi w’omuntu yeeyetabye mu kuziika abadde jjajja wa Nabagereka Maama Nagginda wali e Nkumba.

Nelson Edmund Ssebuggwaawo yafa ku lunaku lwa ssande ng’aweza emyaka 103 era ng’alese abaana 25 n’abazzukulu 184.

Ng’ayogerako eri abakungubazi, maama Nagginda atenderezza omugenzi gw’ayise omusomesa ng’agamba nti yeeyamusomesa empisa era abadde kyakulabirako gy’ali.

Yye Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga agambye nti omugenzi abadde ayagalwa mu Buganda ne Uganda era nga mu kika ky’omusu mw’abadde asibuka, empagi yamaanyi gyebafiiriddwa.

Mayiga amwogeddeko ng’omusajja ow’enjawulo ate abadde ayagala eggwanga lye kubanga yawaayo ettaka lye okuzimbako amasomero n’amasinzizo

Mu kusiima omugenzi, gavumenti ya Buganda ewaddeyo bendera yaayo okubikka ku mulambo gwe.

Mu bubaka obwetikkiddwa katikkiro, Ssabasajja Kabaka asiimye Katonda olw’okuwangaaza omugenzi n’abeera ow’omugaso ennyo eri eggwanga lye.

Emikolo gy’okuziika gyetabiddwaako, Omulangira David Kintu Wassajja, omumbejja we Tooro Elizabeth Bagaya, Namasole kko n’abaana b’engoma.

Leave a comment

0.0/5