Bya Moses Ndaye,
Abadde omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga yewandisiza okuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti eyomulundi ogwe 11 ku kaada ye kibiina kya NRM.
Ono yasoose okulaga obwagazi bwekifo kino.
Mu kwogerako ne bannamawulire nga amaze okwewandiisa, Kadaga yeyamye okutandikira wakomye mu palamenti eye 10 awereza eggwanga lye mu bwensimbu.
Era aweze okufuba okulaba nti emirimu gya palamenti gyetengerera omuntu owa wansi asobole okuganyulwa mu bakulembeze.
Munegeri yemu Abantu 2 bebakeewandiisa okulaga obwagazi bwabwe eri ekifo kyomumyuka wa sipiika mu palamenti nga beyambisa kaadi ya NRM.
Akakiiko ke byókulonda mu NRM kaayise Bagala bonna okuvuganya ku kifo kya sipiika nómumyukawe
Omubaka omukyala owa Bukedea Anita Among, nomubaka we Ruhinda North, Thomas Tayembwa bewandisiza leero ku kitebe kya kakiiko ke byokulonda ekya NRM wali e Kyadondo.
Among yeyemye okulongoosa ekitiibwa kya palamenti.
Okusinzira ku sentebe wa kakiiko ke byokulonda mu kibiina kino Dr.Tanga Odoi bwebanaba bamaze okuwandiisa abagala bonna akakiiko akokuntiko akekibiina aka CEC kakutuula kasunsule amaanya gabwe noluvanyuma gaweebwe ababaka ba NRM bagakubeko akalulu ake kyama abanayitamu amaanya gabwe gakusindikibwa mu palamenti okukikirira ekibiina.
Okulonda kwakulonda sipiika wa palamenti nomumyukawe kyakuberawo nga May 24th.