Ssabapoliisi w’eggwanga Gen. Kale Kayihura akoze enkyukakyuka mu bukulembeze bw’ettendekero lya poliisi erye Kabalye mu disitulikiti ye Masindi.
Abadde alikulira Moses Kafeero akyusiddwa n’asikizibwa abadde aduumira ekibinja kya poliisi ekirwanyisa obutujju Frank Mwesigwa.
Kafeero kati atwaliddwa ku ttendekero lya poliisi eddala erye Bwebajja .
Yadde nga tetusobodde kwogerako namwogezi wa poliisi ku nsonga eno, ye Kafeero akkirizza nga bwakyusiddwa.
Kafeero akulidde ettendekero ly’e Masindi okuva mu 2011 nga yadde mu kifo kya Andrew Felix Kaweesi gweyali amyuka.