Bya Damalie Mukhaye
Akakiiko akatekeddwawo omumyuka wa ssenkulu ku ttendekero e Makerere, kayise akulira ekibiina ekigatta abasomesa ekya MUASA Dr. Deus Kamunyu, wakati mu kunonyereza kwebaliko ku biki ebyamugobya.
Okusinziira ku Kamunyu, ayitiddwa okweyanjula eri akakiiko kano, olunnaku lwenkya, abeeko byanyonyola.
Kati Kamunyu agambye nti agenda, kweyanjula eri akakiiko kano, waddenga era wakusigala mu nteseganya okugonjoola ensonga.
Kinajjukirwa nti ono yagobwa nga 18th January, omumyuka wakulira ettendekero Prof Barnaba Nawangwe olwokukuma omuliro mu bayizi okwekalakaasa.