Skip to content Skip to footer

Omumerica asingisidddwa ogw’okunywa enjaga

Bya Ruth Anderah

Munansi we gwanga lya America, asingisddwa omusango gwokubeera nenjaga, era nasindikibwa mu kkomera e Luzira, nga bwalinda ekibonerezo.

Joseph Emad owemyaka 23, avunaniddwa mu maaso gomulamuzi we ddala erisooka, mu kooti ya City Hall Patrick Talisuna, era omusango nagukiriza.

Kati omulamuzi amusindise ku alimanda, okutukira ddala nga February 15th, lwanamuwa ekibonerzo.

Oludda oluwaabi lugamba nti omuvunanwa, ngennaku zomwezi January 24th 2019 yasangibwa nejaga ngajifuweetwa misana ttuku, wali mu Kitala zone mu Kampala.

Leave a comment

0.0/5