Skip to content Skip to footer

Katikiro alabudde Nkoba za Mbogo okukoma okusabiriza.

Bya Shamim Nateebwa.

Katikkiro wa Buganda munamateeka Charles Peter Mayiga atabukidde ebibiina by’abavubuka byonna mu Buganda okutandika okutereka n’okutondawo projects omuva ensimbi.

Okwogera bino owek.Mayiga abadde kumukolo gw’okukyusa obukelmebeze n’okulayiza abakulembeze ba Nkoba za mbogo.

Ono  gambye nti abavubuka basobola bulungi okwekolera kunsonga zabwe singa n’omutima ogutereka.

Kumukolo gw’egumu era egombolola y’e Nsangi Sabagabo efundikidde entegeka z’okuwayo amakula omwaka guno nga bawadeyo ebintu ebiwerako eri katikiro era wano w’asinzidde n’akubiriza Obuganda bulijjo okujjumbira okuwagira ennono n’obulombolombo obutwala Buganda maaso.

 

Leave a comment

0.0/5