Bya samuel sebuliba.
Ministry ekola ku byetaka etegeezeza nga bwetandise ku kaweefube ow’okujjawo ekiragiro ky’omulamuzi wa kooti ye Nabweru nga ono yeyawandiika ekibaluwa ekyasengula abantu be lusanja mungeri emenya amateeka.
Minister akola ku byetaka Betty Amongi agamba nti kirungi nti n’omulamuzi yenyini yavudeyo neyeetonda olw’okukola ensobi, kale nga kati kyebabuzaayo kyakijjawo nsala eno, ebisigadde byanguwe.
Ono agamba nti kino nga kiwedde, government egenda kutuula erabe butya bwegenda okuddamu okuzimbira abantu beeno amayumba , kubanga kakano basula mu mpewo.