Bya samuel ssebuliba.
Katikiro wa Buganda Charlse Peter mayega nate avumiridde emizze egy’okusambirira edembe ly’obantu, kko n’obutawangana kitiibwa okususse mu ugada, nga kuno okusinga kukolebwa ebitongole ebikuuma dembe.
Katikiro bino abyogerededde wano e Bulange e mengo mu Lukiiko lwa Buganda olutudde leero.
Mukwogera katikiro agambye nti kiruma okulaba nga abantu nadala abakulu mu gwanga bayisibwa nga eby’okutale ate nebamala nebeewana, kyoka newabulawo abakwata.
Kati ono asabye ebitongole ebikuuma dembe okudda kumulwamwa ogwokukuuma banna nebyabwe.