Bya Samel Ssebuliba.
Katikiro wa Buganda Charlse peter mayega asabye government okwanguwa okuwa police ebikozesebwa esobole okukola emirimo gyayo.
Bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda wano , Katikiro agambye nti e kitta abantu kikyagenda mu maaso, kale nga police egwana okufibwako efune obukugu.
on ategeezeza nti police tegwana kukoma ku kyakufuuyira mukka gubalagala kyoka wabula etandike nokunonyereza ku buzzi bwemisango mu bwangu.
Mungeri yeemu katikiro ategeezeza nga obwakabaka bwebutandise okuzimba ekizimbe ekigenda okuwebwa kabaka nga ekirabo bwanaba ajaguza okuweza emyaka 25 nga ali NamulonDO
Ono agambye nti Sabasajja kabaka asiimye ekizimbe kino kiyitibwe Kabaka Mulondo, nga ono y’omu kubasekabaka 2 abaali bafuze obuganda nga bakyali bato dala.