Bya Alex Tumuhimbise
Waliwo alipoota empya efulumizddwa aba Civil Society Budget Advocacy Group eraze nti mu mwaka gwebyensimbi 2016/17 abawala bangi abasoma, ku mutendera gwa primary bwogerageranya ne banaabwe abalenzi.
Ebibalo biraga nti ku masomero ga primary 570 gebakolako okunonyereza, abaana omugatte emitwalo 41 bebayita mu masomero.
Ku bano emitwalo 20 mu 9,000 nga gakola 50% baali bawala ate 49% bebalenzi.
Bwabadde afulumya alipoota Sophie Nampewo omukugu mu byokunonyereza nokukenenula ensonga mu CSBAG kino akitadde ku kusomesa omwana owobuwala nokulaga obukulu bwokutaasa abawala okubaddewo okwetoola egwanga.