Bya Shamim Nateebwa
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abayizi ba Muteesa I Royal University ku bikolwa byokwekalakasa nategeeza nti omuzze muzze guno gutatanira ddala ekifaananyi ky’ettendekero era n’abasaba okuwagira abakulira ettendekero okulaba nga batereeza okusoomoozebwa okutera okubaawo.
Emyaka ebbiri egiyise abayizi ba Yunivasite eno bazze bekalakasa nga yagalwako mu October 2017 kyokka negulwawo mu December wa 2017.
Omumyuka Ow’okubiri Owa Katikkiro wa Buganda era nga ye Minisita w’ebyenjigiriza e Mengo, Dr. Twaha Kaawaase agambye nti batandise ku lugendo lw’okunogera ebizibu bya yunivasite eno eddaggala naddala nga bateeka ebikozesebwa mu masomo ga Sayansi ne Tekinologiya.