Bya Sam Ssebuliba
Kamalabyonna Buganda Charles Peter Mayega ayambalidde Ssabanyala Baker Kimeze namulangira okukulembeze ensonga omutali okulemesa enkulakulana.
Kinajukirwa nti mu mwezi oguwedde Katikiro bweyali ategeka okukyala kwe’Bugerere mu nkola eya Mwanyi terimba, Kimeze yali ayagala katikiro asooke okumusaba olukusa.
Kati bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda olwaleero, Katikiro Mayega agambye nti abakulembeze bagwana bakome okukulembeze ensonga omutali, wabula bafeeyo ku mbeera zabantu.
