Bya Ruth Anderah
Eyali ssbapoliisi we gwanga Gen. Kale olwaleero yeyanjudde mu eri omuwandiisi wa kooti yamagye, Maj. John Bizimana ngobumu ku bukwakulizo obwamutekebwako ngayimbulwa.
General Kayihura yayimbulwa awoze ngava bweru wakaddukulu, nga August 28th 2018 era nalagirwa okweyanjulanga ku kooti eno buli lwa Babalaza olusooka mu mwezi.
Kayihura era baaamugaana okutambula okusukka ensalo, ne Kampala ne Wakiso nga tafunye lukusa lwabakulu mu magye ge gwanga.
Gen Kayihura yavunanibwa emisango3, okuli okuwa ebyokulwanyisa abantu abakyamu ngaba Boda-Boda 2010, okuyambako okuwamba nokuzaayo banansi ba Rwanda, nokulemeterwa okukuuma ebyokulwanyisa.