Bya Ritah Kemigisa
Banamateeka bomubaka omwa munispaali ye Mityana Francis Zaake bategezezza nti kati, batandise okukola ku biwandiiko byomuntu waabwe agende e bweru okujanjabibwa.
Munnamateeka Nicholas Opiyo atubuliidde nti omubaka Zaake bamuyimbudde ku kakalu ka poliisi, nga kati wakutwalibwa ajanjabibwe mu ddwaliro lyanaaba yeyagalidde.
Poliisi mu kusooka yagaana Zaake okugenda e bweru, nga bategeeza nti baali bamwekengedde nomubaka Kyagulanyi nti batoloka.
Abantu 2 bebeyimiridde omubaka Zaake, okubadde ssentebbe wa district ye Mityana Joseph Luzige nomubaka wa Mukono South Johnson Muyanja Ssenyonga.
Kati wakulabikako ku kitebbe kyaba mbega nga 3rd October 2018.