Nga ebula mbale omwaka guno okuggwako, ekitongole kya KCCA kilabudde bananyini bizinesi abakyalemeddwa okusasula emisolo gyakyo bakikole bunambiro oba ssi kkyo omwaka omupya bakuguyingira nga baggale.
Akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi agamba abasuubuzi bangi batuulidde emisolo kale nga bamenya mateeka gatwala ekibuga.
Etteeka lya KCCA enyingo namba 50 liwa KCCA obuyinza okuggya omusolo ku bananyini bizimbe byonna ebiri mu Kampala.