Ekitongole kya Kampala capital city authority kiyungudde abakozi 640 okuteeka ebitaala ku nguudo ez’enjawulo mu kwetegekera amakyala ga paapa ku lunaku olwokutaano.
Akitongole kino kyapatanye kampuni y’ebyamasanyalaze eya Phillips okuleeta ebitaala bya Solar 750 nga era byakutekebwa ku nguudo okuli Nile Avenue, Jinja road,kumpi n’ekiggwa ky’abajulizi e Munyonyo n’ewalala.
Nga ayogerako nebannamawulire , akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi ategezezza nti nga ogyeko okutekawo ebitaala ebipya, bakuyoyota ekibuga Kampala kitemagane nga mukene mungeri yonna esoboka okuwagira ekeleziya mu kukyala kwa paapa.
Mu ngeri yeemu embwa enkozi z’olusu zetala e Namugongo okulaba nga ebyokwerinda binywezebwa ku kiggwa ky’abajulizi.