Bya Ruth Anderah
Ekifananyi: Kitatta ngakabira mu kooti gyebuvuddeko
Omuyima wekibinja kya Boda-Boda 2010 Abdallah Kitata okuwulira omusango gwe mu kooti yamagye etuula e Makindye, kugenda kuddamu.
Kitata nga mu kaseera kano ali ku alimanda mu nkambi yamagye e Makindye wamu nabalala 12 bakugenda mu maaso nokumegana nemisango gyebwe egyokusangibwa nebintu byamagye mu bukyamu.
Kitata yye era aliko emisango 5 emiralala ejimuvunanwa okuli okusangibwa ne mmundu ekika kya SMG, basitoola 3 namasasi 50.
Okusinziira ku ludda oluwaabi ono yasangibwa nebintu bino nga January 18th 2018 mu woteero emu e Hotel e Wakaliga, songa birina kubeera mu mikono gyamagye ge gwanga aga UPDF.
Ssentebbe wa kooti yamagye Lt.Gen Andrew Gutti mungeri yeemu asubirwa okulamula obanga Kitata anamuyimbula ku kakalu awoze ngava bweru wa kkomera.