Bya Ruth Anderah

Nabakyala wobukama bwa Tooro Best Kemigisa olwaleero asubirwa okulabikako mu kakaiiko akanonyereza ku mivuyo gye ttaka, okwenyonyolako ku bimwogerwako nti yezza ettaka lyabalangira mu Bukama.
Wiiki ewedde ssentebbe wakakiiko, omulamuzi Catherine Bamugemeire yayisa ebiwandiiko ebiyita Nabakyala, olwaleero okwenyonyolako.
Mu kwemulugunya okwaletebwa mu kakiiko kano, abolulyo olulangira baagamba ntio ono agenize atunda ettaka lyonna o0kutudde nebiffo ebyebyafaayo eryabalekerwa kitaabwe.
Kuno kuliko ettaka lye Kagoma ne Burongo mu magombolola okuli Kibitto ne Kisomoro.
Mu bujulizi bwabwe bagamba nti oluvanyuma lwa omukama Patrick Mathew Olimi Kaboyo 111 okufa mu August 1995, nbakyala yafuna ebiwandiiko ebimuwa obuyinza ku ttaka lino nakyusa namannya gobwananyini.