Skip to content Skip to footer

Kitatta gimusse mu vvi bamusalira nkya

Bya Ruth Anderah

Kooti yamagye etuula e Makindye, etulako abalamuzi 7 ng’ekubirizibwa ssentebbe waayo Lt Gen Andrew Gutti esingisizza eyali omuyima wekibiina kya Boda Boda 2010 Adallah Kitatta emisango gyokusangibwa nebyokulwanyisa mu bukyamu.

Kooti yeemu era esingisizza neyali omyukuumi we Sowali Ngobi omusango guno, wabulanga ogwokusangibwa nebyamabalo byamagye bajibejjereezza.

Kooti yeemu abantu abalala 7 bwebabadde bavunanibwa ebejerezza emisango gyonna.

Abantu 9 bebabadde bavunanibwa okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu bukyamu, ebirina okubeera mu mikono gyamagye atenga bbo bantu baabulijjo, ssako nebyamablo byamagye.

Ono kinajjukirwa yakwatibwa ku woteeri ya Vine Tea e Wakaliga mu Febraury womwaka oguwedde, ngamaze mu kkomera omwaka gumu nekitundu.

Ono kigambibwa nti baamusanga ne mmundu kika kya basitola eya zzaabu, nendala kika kya SMG.

Kati kooti etaddewo olwenkya, okuwa abantu bano ebibonerezo.

Leave a comment

0.0/5