Bya Benjamin Jumbe
Abadde minisita webyobulambuzi Godfrey Kiwanda mu kwewaana agamba nti yakola kinene nnyo okuzukusa ebyobulambuzi.
Kiwanda bino abyogeredde ku mukolo ogwokuwaayo wofiisi ogubadde mu Kampala, ngagambye nti ebyobukulembeze kubeera kuwereza ssi byabusubuzi waddenga abamu babitunuliira ngomukisa bangi mwebayita okunoga ensimbi.
Ebimu ku byanokoddeyo byasobodde okukola, agambye nti yayongera ku balambuzi abava emitala wamayanja okuva ku mitwalo 80 kankano okudda ku bukadde2.
Kiwanda eno atukidde ku digi, nga yevuga, Martin Mugara yagenda okumuddira mu bigere.