Bya Ivan Ssenabulya
Palamenti etonzeewo obukiiko obugenda okukola ku kulwnayisa ssenyiga omukambwe, nga bugenda kutulako ababaka nga basawo.
Bano bagenda kuyambako gavumenti mu ntekateeka zokulwanyisa COVID-19.
Akakiiko aka waggulu kagenda kukulemberwa omubaka we Bugweri Abdul Katuntu nga yagenda okukulemberamu banne okukikirira palamenti ku kakiiko ka gavumenti aka waggulu.
Bano balangiriddwa omumyuka wa sipiika Anitah Among ngagambye nti waliwo nobukiiko obulala obugenda okulondoola ebintu ebyobwgagaavu bwegwanga ebyenjawulo.
Kino kyatukiddwako oluvanyuma lwaboudde oluvuganya gavumenti okuwakanya ekyokuggla palamenti okumala wiiki 2, wakati mu butamanya emirimu egigenda okukolebwa gavumenti mu kiseera kino.
Akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathias Mpuuga yagambye nti kino kyekiseera abantu webasinga okwetaaga obuwereza okuva mu bakulembeze baabwe.
Mungeri yeemu kyakanyizidwako palamenti esigale ngetuula, wabula okuyita ku mutimbagano.