Skip to content Skip to footer

Kooti egobye omusango gwa Abu Adidwa owa Bukooli South

Bya Abubaker Kirunda

Omulamuzi wa kooti enkulu e Iganga, agobye omusango gwebyokulonda ogubadde guwakanya okulondebwa kwomubaka Abu Adidwa owa Bukkoli South mu disitulikiti ye Namayingo.

Omulamuzi Godfrey Namundi yagobye omusango ogwaloopebwa Steven Dede abadde awakanya obuyigirize bwe Adidwa eyamuwangula.

Omulamuzi agambye nti eyawaaba yalemereddwa okuleeta obujulizi obumatiza, okusazaamu okulonda okwali mu kitundu kino.

Alagidde Dede okuliwa eri gweyawawabira, ensimbi zaasasanyizza mu musango guno.

Leave a comment

0.0/5