Skip to content Skip to footer

Kooti enkulu eragidde Eddie Mutwe ayimbulwe

Bya Ruth Anderah

Kooti enkulu mu eragidde Commissioner wa Police Elly Womanya nomulala yenna akwatibwako, okuyimbula omukuumi womubaka wa Kyadondo East Eddie Ssebuufu amanyiddwa nga Edie Mutwe awatali bukwakulizo bwonna kubanga akyagaliddwa mu bukyamu.

Omulamuzi Musa Ssekaana yayisizza ekiragiro kino oluvanyuma lwa munamateeka Eron Kiiza, okutegeeza nti okuva ssabawoererza wa gavumwenti lweyategeeza nti ono bagenda kumuvunaana nga 4th  omwezi guno tekinakolebwa.

Kati omulamuzi Ssekaana agamba nti ekikolwa kino ekityoboola eddembe lyobuntu nokum,enya ssemateeka tebayinza kukiguminkiriza, kubanga abakuuma ddembe bakwata omuntu ate nebatamutwala mu mbuga okumuvunaana nti omusango gwe guguno.

munamateeka Eron Kiiza yaddukira mu kooti eno enkulu, mu Kampala oluvanyuma lwa Eddie Ssebuufu okukwatibwa nga August 25th 2018 okuva e Kamwokya ku Ssemakokiro Plaza mu Kampala.

Kigambibwa nga ne kooti ekitegeddeko nti ono bamutwala ku knambi yamagye e mBuya nga baamujjawo mu mmotoka zamagye.

 

Leave a comment

0.0/5