Skip to content Skip to footer

Poliisi ekutte 2 olwo’kubba ente mu faamu ya Museveni

Bya Malikh Fahad

Poliisi e Sembabule eriko abantu 2 begalidde nga kigambibwa nti bebabba ente okuva mu faamu yomukulembeze we gwanga e Kisozi.

Abakwate batuuze ku kalo Lutunku A mu gombolola ye Kawanda mu district ye Sembabule, nga poliisi egaba nti baatemezeddwako abatuuze oluvanyuma lwokubekengeera ku nyama gyebabadde btunda.

Ayogerera poliisi Lameck Kigozi ategezeza nti babakutt, nga ne nyama gyebabadde batunda bajiboye.

Bino webijidde nga wakayita wiiki emu, poliisi bweyakwata omusajja agambibwa nti yatekera ekitundu  ku faamu ya Presidenti Museveni omuliro.

Leave a comment

0.0/5