Skip to content Skip to footer

Kooti yakuwliriza omusango gwa UPDF mu palamenti

Bya Ruth Anderah

Kooti eya ssemateeka olunnaku olwenkya yakuwuliririza omusango, oguwakanya ekyamagye ge gwanga okukirirwanga mu palamenti omusango ogumaze emyaka 8 mu kooti eno.

Magye ga UPDF okubeera nababaka mu palamenti, kikontana nembeera yebibiina byobufuzi ebingi.

Omumyuka wa ssabalamuzi we gwanga Alphonse Owiny-Dollo wakukubiriza kooti, eyabalamuzi 5 okutunula mu musango guno.

Abalamuzi abalala kuliko Kenneth Kakuru, Frederick Egonda-Ntende, Hellen Obura ne Ezekiel Muhanguzi.

Mu musango ogwawaabwa mu 2011, omulwanirizi we ddembe Ellady Muyambi awakanya enyingo 78 akawayiro (1) ne (2) bagamba nti mwebayita okusindika ababaka bamagye mu palamenti.

Okuyita mu banamataeeka be aba Rwakafuuzi and Company Advocates, Muyambi agamba nti ate ennyingoeyo ekontana ne nnyingo 80 akakwayiro (4) ekugira amagye okwetaba mu byobufuzi.

Agamba nti emirimu gyamagye temuli kyakukiikanga mu palamenti,kyagamba nti byabufuzi byenyini.

Ayagala kooti ekirangirire nti kimenya amateeka, era abamagye bajibwe mu palamenti mu bwangu.

Wabula Ssabawoererza wa gavumenti agamba nti omusango guno, temuli nsa, oba oli awo ekiyinza okutaganjuza ssemateeka okutaputa.

Leave a comment

0.0/5