Skip to content Skip to footer

Gwebakebedde nga mulwadde yetuze

Bya Opio Sam Caleb

Omukyala eyali yayawukana ne bbaawe ate nasalawo okudda mu maka,yejje mu bulamu bwensi bweyekebezza akakwuka ka mukenenya nakuzuula nti mulwadde.

Babra Kantono owemyaka 30 nga mutuuze we Kananage B Zone e Nankulyaku mu district ye Kamuli agenize mu ddwaliro, ngibumu ku bukwakulizo omusaja bwabadde amutereddewo, ssinga abadde wakudda mu bufumbo.

Wabula kigambibwa nti abasawo bwebaze okumubudabuda, asazeewo okuddayo ewa kitaawe,, gyeyewanikide ku muti nafa.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North Michael Kasadha, agambye nti bakirize abenganda baziike, oluvanyuma lwokumwekebejja nti abadde mulwadde wa ssiriimu.

Leave a comment

0.0/5