Bya samuel Ssebuliba.
Etendekero elya kyambogo litegeezeza nga bwerimaze okubaga ku ntekaeeka ez’okuleeta abasomesa abacuba mu gwanga.
Bano okwogera bino babade balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’enjigirize , ababaka gyebakizuulide nti kyambgo etegegee okuleeta ba professor 15 nga buli omu asasulwa obukadde musanvu .
Mukunyonyola Professor Fabian Nabugwomu nga ono yemubeezi w’amyuka akulira etendekero lino agambye nti abakugu bebaleeta bakusomesa bya yinginiyalingi , kubanga bakizudde nga mu uganda bano bamunyoto.
Ono agambye nti entekateeke ziwedde, era nga basubira nti mu banga tono bano bakutonya mu uganda.