Bya Ritah Kemigisa.
E Lungujja wano tutegeezeddwa nga bwewaliwo omusajja wa myaka 33 afiiride munyumba, nga kino kidiriidde enyumbaye okukwata omuliro n’esanawo
Ayogerera police mu kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire agamba nti omusajja ono afudde ategerekese nga John Bosco Kalibala , nga ono abadde akola mu masiro.
Ono agamba nti ebyakazuula biraga nti omusajja ono yandiba nga yabadde atamidde omuliro wegwakwatidde enyumba mweyabadde