Skip to content Skip to footer

Laddu esse abantu 4 ab’enyumba emu

Bya Abubaker Kirunda

Abantu 4 okuva mu famile emu, bakubiddwa laddu nebatta mu distulikiti ye Mayuge.

Enjega eno ebadde ku mwalo gwe Sagiti mu gombolola ye Jagozi e Mayuge.

Sowali Kamya, nga mulirwana wabagenzi, agambye nti laddu ebakubidde mu nnyumba yaabwe eye’ttaka mwebabadde.

Enyumba yonna egudde ku ttaka, ne’ssubi lyebabadde baseresa nerikwata omuliro.

Abagenzi kubadde omwami, mukyala we nabaana baabwe babiri.

Kamya agambye nti waliwo omwana owokusattu asimattuse okufiira mu njega eno, ngabadde yasuze ku mulirwano.

Omusajja ategerekese nga ye Omunyu atenga mukyala we ategerekseeko lya Brenda, ngabaana bafudde kuliko owemyaka 2 nowe’meyaka 3.

Leave a comment

0.0/5