Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kirangiridde nti eggwanga lya Liberia liweddemu ekirwadde lya Ebola
Kiddiridde eggwanga lino obutafunayo mulwadde yenna mupya mu nnaku 42
Omukulembeze ali mu ntebe Ellen Johnson Sirleaf ategeezezza omukutu gwa BBC nti musanyufu nyi eggwanga lye libadde livudde ku bwerende
Abantu abasoba mu 4,700 beebafa ekirwadde kino mu Liberia era nga lino lyelyasinga okukosebwa
Yyo mu Guinea ne Sierra Leone bakyatoba n’ekirwadde kino.