Bya Ruth Anderah,
Loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago addukidde mu kkooti enkulu nga ayagala eyimirize ekiragiro kyákakiiko ke byokulonda ekyókusazaamu kampeyini mu disitulikiti ezisingamu ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Lukwago ekiragiro kya kakiiko kino agamba nti kyaleetedwa mu mutima mubi ne kigendererwa ekyokwagala okulinyirira eddembe lya bannabyabufuzi okukungana naddala mu kaseera kano nga banonya akalulu
Lukwago agamba nti yye ngómu ku bavuganya teyebuuziddwako kakiiko nga tekanayisa kiragiro kino ekintu ekitali kya bwenkanya
Ono ayagala kkooti esazeemu ekiragiro kino era eragire ne ssabapoliisi obutageza kukwata munnabyabufuzi yenna anagezaako okusaba akalulu mu bitundu ebyamenyeddwa
Lukwago okuvaayo bwati kidiridde akakiiko ke byokulonda okugaana abesimbyewo okunonya akalulu mu disitulikiti okuli Kampala , Masaka, Luweero, Mbarara , Kasese, Wakiso , Jinja , Kalungu , Kazo ne Tororo ezigambibwa okuba nti zisasaniddemu nyo ekirwadde kya covid-19