Skip to content Skip to footer

Mao ayagala akakiiko kébyókulonda katangaza ku kiragiro kyékayisiza

Bya Prossy Kisakye,

Ssenkaggale wa DP Norbert Mao asoomozza akakiiko k’ebyokulonda, okunyonyola amateeka gebayiseemu okuyiiriza kampeyini mu distulikiti ezimu nebibuga.

Ssentebbe wakakiiko kebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama yategezezza nga kino bwekyakoleddwa olwemiwendo gyabalwadde ba ssenyiga omukambwe COVID-19 egigenze gyeyongera.

Kati mu bitundu ebyamenyeddwa, enkungaana zebyobufuzi zaganiddwa.

Kuno kuliko Kampala, Mbarara, Luweero, Kasese, Masaka, Wakiso, Kabarole, Jinja, Kalungu, Kazo, Kiruhura, Mukono ne Tororo.

Mao agambye nti ebiragiro bino biri wabweru wamateeka.

Leave a comment

0.0/5