Skip to content Skip to footer

Abanyazi b’okumazzi 2 bakwatiddwa

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi eriko abasajja 2 bekutte, nga kiteberezebwa nti bebakulembeze ababadde baddumira abanyaguluzi bokumazzi ababade batigomya abavubi ku Nnyanja Nalubaale mu distulikiti ye Buvuma.

Bano babadde bayambisa ebijambiya, nebalumba abavubi okubabbako yingini zamaato nebikozesebwa ebiralala mu buvubi.

Omubaka wa gavumenti e Buvuma nga yakulira ebyokwerinda Juma Kigongo agambye nti abasinze okukosebwa bebavubi mu bizinga bye Lubya, Bugaya, Lwaje ne Lyabaana.

Kigongo abakwate tabatukirizza mannya, wabula agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Ababbibwako ebyabwe abasabye bekubire enduulu ku poliisi osanga banayambibwa.

Leave a comment

0.0/5