N’okutuusa kati Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago ne Paasita Pr. David Happy Ngabo ow’ekanisa ya Rock Deliverance Ministries bakyali mu kaduukulu ka poliisi e Naggalama mu disitulikiti ye Mukono.
Bano b’akwatiddwa n’abawagizi ba FDC abalala ku kitebe kya FC e Najjanankumbi bwebabadde bagenze okwetaba mu kusaba kw’ekibiina okwabuli lwakubiri nga wakayita mbale amyuka ssabalamuzi w’eggwanga Steven Kavuma kyaggye ategeze nti bimenya mateeka.
Mungeri yeemu abawagizi ba FDC abakwatiddwa a Najjanankumbibasuubirwa okuleetebwa mu kkooti ye Makindye okubasomera emisango gyabwe.