
Okuwulira omusango oguvunanibwa omuvuzi w’emmotoka zempaka Ponsiano Lwakataka ne banne abalala 2 ogwokutta abantu benyumba emu e Rakai guddamu okuwulirwa olunaku olwaleero.
Lwakataka, Fangesi Vincent amanyiddwa nga Kanyama wamu ne Emanuel Zinda bebasuubirwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti e Masaka John Keitirima.
Kkooti yakuwulira obujulizi bw’abantu abawerako ku musango guno.
Oludda oluwaabi lulumiriza nti nga 14th January 2013, Lwakataka, Zinda Fangesi n’abalala abakyaliira ku nsiko balumba amaka ga pasita Steven Mugambe owekanisa ya Kyebe nebamutta n’abenyumbaye bonna abalimu.