Skip to content Skip to footer

Maama atubidde nómwana ow’emyaka 2 omulwadde wómutima

Bya Ivan Ssenabulya,

Maama mu disitulikiti eye Gomba atubidde nómwana owemyaka 2 alina ekizibu ku mutima.

Okusinzira ku Jackeline Nabakooza, abasawo ku ddwaliro lya balwadde be mitima e Mulago bamuwa amawulire nti omwanawe Alexandra Nsereko alina ekituli ku mutima era nga beetaaga obukadde 85 atwalibwe e Buyindi okulongosebwa.

Ono agamba nti agezezako okwetundako buli kalina akunganye ensimbi ezetagibwa wabula ziganye okuwera.

Nabakooza asasanya emitwalo 15 buli mwezi okugula eddagala, asabye bamuzira kisa okumuddukirira.

Leave a comment

0.0/5