Bya Ivan Ssenabulya
Minista owebibamba nebigwa tebiraze Eng. Hillary Onek, atagezezza nti abanoonyi bobudamu bonna mu gwanga batekeddwa, okubeera nebiwandiiko ebikakasa okubeera kwabwe wano mu mateeka.
Minister okwogera bino abadde ayanukula ku bigambo bye, ebibutikidde emikutu gyamawulire, bweyategeeza ngabanoonyi bobudamu aba-Nyarwanda abali kuno gavumenti bwegenda okubazaayo ku mpaka.
Bwabadde ayogera ne banamawulire ku Media Centre mu Kampala, Onek aambye nti abamu bawanagadudde kuno nokusukka ebbanga eryalambikibwa lyabalina okuberawo.
Ategezezza nti kino tekkola ku banyrwanda bokka wabula, emponzi bonna abali mu Uganda okuberawo mu mateeka.
Bino webijidde ngolunnaku lwe ggulo abanoonyi bobudamu abaava mu Rwanda, nabalawnairizi be ddembe lyuntu baawakanyizza entekateeka ya gavumenti eno ebadde eyogerwako.
Uganda erina abanoonyi bobubudamu akakadde 1 nemitwalo 20 nokusoba, nga bava mu mawanga agatwetolodde.