Bya Damali Mukhaye
Nga ekisanja kya Gen Mugisha Muntu ekisooka kinatera okuggwako mu November 2017, abantu abalala 2 besowoddeyo okumuvuganya mu kiddako.
Bano kuliko ssabawandiisi w’ekibiina kino Nathan Nandala Mafabi n’eyali omubaka wa palamenti Amuliat Oboi
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanakumbi, amyuka omwogezi wa w’ekibiina Paul mwiru ategezezza nti n’abalala abaagala ekifo kino nga balina ebisanyizo baddembe okugyayo empapula.
Agamba olukiiko lw’ekibiina lwakutuula okuva nga 16-17 June okuteesa ku bigenda okugobererwa mu kulonda.