Bya Damali Mukhaye.
Abakulu ku tendekero elya Makerere balumbye abasomesa abaagobwa, kyoka nga bano akawungezi ak’eggulo badukidde ewa sipiika wa palament nga baagala ayingire mu nsonga zino.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire, amyuka akulira etendekero lino Prof Barnabas Nawangwe agambye nti bano bamanyi amakubo amatuufu webalina okuteeka okw’emulugunya kwabwe, kale nga eky’okugenda mu palamenti kyabadde kyabutaliimu.
Ono agamba nti bano kyebalina okukola kwekugenda mu kakiko ka university akakola ku kutabaganya abasowaganye, mukifo ky’okuwanvuya ensonga okugenda ewa sipiika .
Wabula ono agambye nti newankubadde guli gutyo nabo tebatiddebagenda kwewozaako mungerii yonna.