Skip to content Skip to footer

Museveni alayidde okugyawo emiziziko munteekateekaye eyénkulakulana

Bya Benjamin Jumbe,

Omuk w’eggwanga Museveni alayidde okugyawo emiziziko gyonna egiyinza okulemesa gavt ye empya okutukiriza ebirubirirwa eby’okuleetawo enkyukyuka mu mbeera za bantu.

Bino abyogedde oluvanyuma lwokulayizibwa nga omukulembeze weggwanga omulonde ku kisaawe e kololo.

Museveni anokodeyo ekyokweyambisa obubi ensimbi ze yatekawo okukulakulanya bannauganda, ekyokutataganya enkola ya bonna basome, nóbuli bwenguzi.

Wabula agamba nti gavt yakukola kyonna ekisoboka okulaba nti enkola ya bonna basome ekuumirwa ku mutindo.

Ono agamba nti gavt yakulwanyisa obulyake nga yeyambisa technologia owomulembe.

Ono mungeri yemu ategezeza nga Uganda bwetetaaga kusomesebwa ku bikwata kunfuga eya democracia okuva mu bazungu.

Museveni agambye nti abagwira bangi bagezezako okwagala okulungamya kunzirukanya ye mirimu mu ggwanga lino kyokka nga nabo tebalina bisanyizo byogera ku democracia.

Era pulezidenti akubiriza abakulembeze ba mawanga ku semazinga Africa okukolerera enkulakulana mu byenfuna ne byobufuzi ekiyinza okuyamba abafirica okuyitimuka nokuba obanywevu mu byokwerinda.

Museveni asabye na mawanga mu buvanjuba bwa semazinga Africa okufuna embavu okutaasa omwna womudugavu okuva mu kutulugunyizibwa.

Ekisanja kya Museveni ekyomukaaga agambye era wakukyesigamya nyo ku kuleeta enkyukyuka mu mbeera za bantu nokuyitimuza ebyenfuna.

Singa katonda anamusobozesa okumalako ekisanja kino, Museveni ajjakuba afuze bannauganda emyaka 40

Omukolo gwetabidwako abakulembeze bamawanga 11 nga ku bano kuliko Kenyas Uhuru Kenyatta who is also the EAC chair, Tanzania Samia Suluhu, Salva Kir of South Sudan nábalala

awamu abantu abasoba mu 4000 bebetabye ku mukolo e Kololo.

Gavumenti yategezezza nga bwekozesezza, obuwumbi 7 okugeteka omukolo guno

Leave a comment

0.0/5