Bya Ivan Ssenabulya
Ssabawandiisi w’ekibiina kyamawanga amagatte, Antonio Guterres ayozayzezza abasiraamu okwetoloola ensi, olwokumalako omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan, nekisiibo
Mu bubaka bwe, agambye nti wadde ekisiibo kiweddeko, abasiraamu basaanye okugenda mu maaso nokukola obulungi okuyamba, nokusabira banaabwe abali mu bwetaavu.
Eid al-Fitr, kyekijjulo ekimalako ekisiibo, oluvanyuma lwomwezi mulamba omutukuvu ku kalenda yobusiraamu.
Mu mwezi guno abasiraamu, bakola ebitrungi okuli okugaba, nokuyamba abali obubi okwefunira empeera.
Kati ku lunnaku nga luno, abaoluganda bakunganira wamu okujaguza.