Bya Ivan Ssenabulya,
Omukulembeze weggwanga Museveni alagidde abakungu abaddukanya kampuni y’enyonyi yéggwanga eya Uganda airline abagambibwa okwenyigira mu buli bwenguzi bakangavulwe.
Bino ayabyogedde asimbula okuva mu ggwanga erya Tanzania gyeyagenda okuteeka omukono ku ndagano yómudumu gwamafuta ogugenda okuva e Uganda gugukira ku mwalo e Tanga mu Tanzania.
Mu kuvaayo Museveni yatambulidde mu nyonyi ya Uganda airlines nasiima obukugu bwa bagikolamu wabula nalabula ku bukyake obuli mu kampuni eyo.
Waviriddeko okwogera bino nga nabakungu mu kampuni yenyonyi bali mu kunonyerezebwako ku bigambibwa nti baliko obuli bwenguzi bwebenyigiramu.
Nga April 27, minisita we byentambula Gen Katumba Wamala aliko abakungu ba kampuni eno 7 beyalagira badeko ebbali kunsonga ezitatagerekeka.